Lyrks
Lyrks
Lyrks
Cover Art

Emize gy’abayizi Lyrics by Genius Omuzira

Twandibaddeki

0

Genius Omuzira
In another tune
Brian Beats kikube
Emize gy'abayizi
Yadde egimu saagirondoola, Gyennasimbako nnyo essira gye gino
Emize gy'abayizi, Gino gy'emize gy'abayizi
Muligamba nti akalenzi kaasama, naye nga koogezi ka nsonga
Emize gy'abayizi, Nkutte ku mize gy'abayizi
Abayizi balina emize egiwerako mu ssomero
Gwensookerako kwe kukuba embeekuulo
Okutoloka nebeegendera mikyakalo
Okukoppa mu bibuuzo ekyo kitalo
Batafuta nnyo ekingere ekiri broken
Okukuba abasomesa obufaananyi bu cartoon
Babusseeko nno ewalungi naye ate mu zi kabini
Tebakomye awo ne bi nickname nebabatuuma
Abalenzi baakira nnyo mu ba newcomer
Suggestion box bassaamu gagambo ganene
Okutoloka okumpi n'essomero nebabbayo ffene
Vernacular speaker okumwambaza ekigumba
Abaana b'abasomesa eky'ensonyi ate beebasemba
Tolimusanga mu kibuuzo nga takomba pen
By'ajjuza nga talina paper ejjudde majaani
Nga nebw'aba akoppye atwaliramu n'erinnya
Yadde egimu saagirondoola, Gyennasimbako nnyo essira gye gino
Emize gy'abayizi, Gino gy'emize gy'abayizi
Muligamba nti akalenzi kaasama, naye nga koogezi ka nsonga
Emize gy'abayizi, Nkutte ku mize gy'abayizi
Ku talent show baimitatinga nnyo director
Thirty percent ewaka tebatuusa report
Omuwala bw'afuna olubuto tava mu sweater
Ensawo agiweekera maaso tebaluketta
Okukuba abazadde enjawulo ekyo baakikwata
N'asaba byebatamutumye nti babyagala
Okwekuba eŋŋuumi nga baliko gwebalwanira
Okumenya bu case saako n'okusomola
Ku University oli aggya neyefuula lecturer
Nga yesmartinze era nga kizibu omutegeera
N'abeweesa work n'ebitabo nemukuŋŋanya
N'abuuka nabyo n'atema ebyo n'akumpanya
Abawala beesooka nnyo obutanda bwa waggulu
Kibalwanya mu dom zaabwe nebakuba n'enduulu
Okufuka nga ku buliri nga ate gakulu
Negawa bu young akasente bugaanikire
Gatya embooko negefuula agakubiddwa lubaale
Kyokka ekinnuma ge geesabika nga agawendule
Genius Omuzira
Yadde egimu saagirondoola, Gyennasimbako nnyo essira gye gino
Emize gy'abayizi, Gino gy'emize gy'abayizi
Muligamba nti akalenzi kaasama, naye nga koogezi ka nsonga
Emize gy'abayizi, Nkutte ku mize gy'abayizi
Ku lunaku lwa VD beesunga nnyo okubakyalira
Batuula ku gate nebateega kwebalindira
Ba ssaagala kunaaba beekuba nnyo perfume
N'okkuba dry wash mu ngoye era beebamu
Badodginga preps nebalimba nti balwadde
Okutuuka late yadde mbadde nkyerabidde
Ebiwala ebinene biriira nnyo mu class
Biganza abasomesa nebabyongeza ne marks
Food Doubling Club giyite FDC
Eyo okusinga ebaamu balenzi abali stubborn
Baawula ennyongeza abo nga omutumye ku canteen!
Beebamu abatega ne ku parade obulabirwamu
Mission nga kulingiza bawala na bamadam
Okusudiya bannabwe emiggo nga gibalya
Nebamuwaga nti metal kumbe yeegumya butaswala
Bonoona ebintu by'essomero mbu term egenda
Yadde egimu saagirondoola, Gyennasimbako nnyo essira gye gino
Emize gy'abayizi, Gino gy'emize gy'abayizi
Muligamba nti akalenzi kaasama, (Genius Omuzira) naye nga koogezi ka nsonga (With another tune)
Emize gy'abayizi, (Brian Beats kikube) Nkutte ku mize gy'abayizi

About “Emize gy’abayizi” by Genius Omuzira

Read the complete lyrics to "Emize gy’abayizi" by Genius Omuzira from the album "Twandibaddeki ". On Lyrks you can follow along with the full text, explore the artist's discography, and discover related songs. The track is often categorized under Rap.

"Emize gy’abayizi" is performed by Genius Omuzira. from the album "Twandibaddeki " This page provides the full lyric text for fans who want to sing along, study the songwriting, or compare versions across releases. Lyrks organizes lyrics by artist and song slug so you can bookmark and share a stable URL. Music lyrics help listeners connect with emotion, narrative, and rhythm in a track. Whether you are learning English, researching a favorite chorus, or preparing for karaoke, having accurate line breaks and section labels (verse, chorus, bridge) makes the experience easier. We link to the official artist profile on Lyrks where available, including biography snippets, top songs, and chart placements when we have that data. If you enjoy "Emize gy’abayizi", explore more songs by Genius Omuzira using the links below. Chart and trending pages on Lyrks highlight what listeners are searching for this week. For copyright or correction requests, see our DMCA and contact pages.

View all songs and biography for Genius Omuzira · Trending lyrics · Billboard Hot 100

Frequently asked questions

"Emize gy’abayizi" is credited to Genius Omuzira. Songwriting credits may include additional writers listed on the release; check the credits section on this page for linked collaborators.

"Emize gy’abayizi" appears on "Twandibaddeki ".

Visit the Genius Omuzira artist page at /artist/genius-omuzira for biography, popular tracks, and links to more lyric pages.